Surah 98 · 8 verses · Fareeq Musa

Surah Al-Bayyinah in Ganda

In English with tafsir

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

98:1

لَمۡ يَكُنِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ مُنفَكِّينَ حَتَّىٰ تَأۡتِيَهُمُ ٱلۡبَيِّنَةُ

Abajeemu mu bantu abaweebwa e kitabo, n'abo abagatta ebintu ebirala ku Katonda, tebaali baakuva ku nzikiriza yaabwe enkyamu okutuusa nga obunnyonnyofu bubajjidde

98:2

رَسُولٌ مِّنَ ٱللَّهِ يَتۡلُواْ صُحُفًا مُّطَهَّرَةً

Nga, ye Mubaka (Nabbi Muhammad) eyatumwa okuva ewa Katonda, nga asoma ekitabo ekitukuvu (Kur'ani)

98:3

فِيهَا كُتُبٌ قَيِّمَةٌ

Ekirimu amateeka amalambulukufu

98:4

وَمَا تَفَرَّقَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَةُ

Era abantu abo abaweebwa e kitabo tebayawukanayawukana okutuusa nga obunnyonnyofu bumaze okubajjira

98:5

وَمَآ أُمِرُوٓاْ إِلَّا لِيَعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ حُنَفَآءَ وَيُقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُواْ ٱلزَّكَوٰةَۚ وَذَٰلِكَ دِينُ ٱلۡقَيِّمَةِ

So nga ate tebaalagirwa okugyako okusinza Katonda yekka nga buli kyebakola bakikola ku lulwe yekka, awatali ku mugattirizaako kantu konna. Era nga bateekwa okuyimirizaawo e sswala n’okutoola Zzaka. Era nga eyo nno y'eddiini ennambulukufu

98:6

إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ فِي نَارِ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَآۚ أُوْلَٰٓئِكَ هُمۡ شَرُّ ٱلۡبَرِيَّةِ

Mazima abo abaajeema mu bantu abaaweebwa e kitabo n’abo abagatta ku Katonda e bintu ebirala bakuyingira omuliro Jahannama mwe bagenda okubeera olubeerera. Abo nno be babi okusinga ebitonde ebirala byonna

98:7

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ أُوْلَٰٓئِكَ هُمۡ خَيۡرُ ٱلۡبَرِيَّةِ

Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi be balungi okusinga ebitonde byonna

98:8

جَزَآؤُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّٰتُ عَدۡنٍ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدًاۖ رَّضِيَ ٱللَّهُ عَنۡهُمۡ وَرَضُواْ عَنۡهُۚ ذَٰلِكَ لِمَنۡ خَشِيَ رَبَّهُۥ

E mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe kubayingiza jjana eyitibwa Aden, nga emigga gikulukutira mu yo. Baakugibeeramu olubeerera. Katonda yabasiima nabo ne bamusiima. Ebyo nno bigenda kufunwa oyo eyatya omuleziwe (Katonda)

Translation: Fareeq Musa.