بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
80:1عَبَسَ وَتَوَلَّىٰٓ
(Nabbi Muhammad) azze emitaafu, n’akubayo amabega
80:2أَن جَآءَهُ ٱلۡأَعۡمَىٰ
Muzibe bw’amujjidde
80:3وَمَا يُدۡرِيكَ لَعَلَّهُۥ يَزَّكَّىٰٓ
Ki ki ekikumanyisa ob'olyawo (muzibe oyo) aneetukuza
80:4أَوۡ يَذَّكَّرُ فَتَنفَعَهُ ٱلذِّكۡرَىٰٓ
Oba anaabuulirirwa okubuulira nekumugasa
80:5أَمَّا مَنِ ٱسۡتَغۡنَىٰ
Oyo eyeegaggawaza nga yeematira
80:6فَأَنتَ لَهُۥ تَصَدَّىٰ
Ate ggwe gwe weemalira
80:7وَمَا عَلَيۡكَ أَلَّا يَزَّكَّىٰ
Bw’ateetukuza kiki ekinaakubaako
80:8وَأَمَّا مَن جَآءَكَ يَسۡعَىٰ
So ng’oyo akujjidde ng’ayanguwa
80:9وَهُوَ يَخۡشَىٰ
Era ng’atya Katonda
80:10فَأَنتَ عَنۡهُ تَلَهَّىٰ
Ate ggwe gw’otofaako
80:11كـَلَّآ إِنَّهَا تَذۡكِرَةٌ
Nedda si bwe kyandibadde, mazima yyo (Kur'ani) kya kwe buulirira
80:12فَمَن شَآءَ ذَكَرَهُۥ
Aba ayagadde yeebuulirira nayo
80:13فِي صُحُفٍ مُّكَرَّمَةٍ
Eri mu biwandiiko eby’ekitiibwa ennyo
80:14مَّرۡفُوعَةٍ مُّطَهَّرَةِۭ
Ebigulumizibwa, ebitukuvu
80:15بِأَيۡدِي سَفَرَةٍ
Ebiri mu mikono gya Ba Malayika abawandiisi
80:16كِرَامِۭ بَرَرَةٍ
Ab'ebitiibwa, abatukuvu
80:17قُتِلَ ٱلۡإِنسَٰنُ مَآ أَكۡفَرَهُۥ
Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Katonda
80:18مِنۡ أَيِّ شَيۡءٍ خَلَقَهُۥ
(Omuntu talaba) kintu ki Katonda mwe yamutonda
80:19مِن نُّطۡفَةٍ خَلَقَهُۥ فَقَدَّرَهُۥ
Mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera (byonna ebiri mutuukako)
80:20ثُمَّ ٱلسَّبِيلَ يَسَّرَهُۥ
Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa
80:21ثُمَّ أَمَاتَهُۥ فَأَقۡبَرَهُۥ
Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli
80:22ثُمَّ إِذَا شَآءَ أَنشَرَهُۥ
Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde
80:23كـَلَّا لَمَّا يَقۡضِ مَآ أَمَرَهُۥ
Wabula omuntu tatuukiriza ebyo Katonda by’amulagira okukola
80:24فَلۡيَنظُرِ ٱلۡإِنسَٰنُ إِلَىٰ طَعَامِهِۦٓ
Omuntu ateekwa atunuulire by’alya (emitendera gye biyitamu)
80:25أَنَّا صَبَبۡنَا ٱلۡمَآءَ صَبًّا
Mazima ffe tufuukirira amazzi olufukirira (olusaanidde)
80:26ثُمَّ شَقَقۡنَا ٱلۡأَرۡضَ شَقًّا
Ne tulyoka twasa ettaka olwasa (olusaanira ebimera)
80:27فَأَنۢبَتۡنَا فِيهَا حَبًّا
Olwo nno ne tumeza mu lyo e mpeke
80:28وَعِنَبًا وَقَضۡبًا
E mizabbibu n’ebimera e bizimba omubiri
80:29وَزَيۡتُونًا وَنَخۡلًا
N’emizayituni n’emitende
80:30وَحَدَآئِقَ غُلۡبًا
N’ennimiro ezisaakaatiddemu (e miti emiwanvu)
80:31وَفَٰكِهَةً وَأَبًّا
N’ebibala n’omuddo oguliibwako e bisolo
80:32مَّتَٰعًا لَّكُمۡ وَلِأَنۡعَٰمِكُمۡ
Bibagase n’ebisolo bya mmwe
80:33فَإِذَا جَآءَتِ ٱلصَّآخَّةُ
Naye okuboggola bwe kuliba kuzze
80:34يَوۡمَ يَفِرُّ ٱلۡمَرۡءُ مِنۡ أَخِيهِ
Olunaku omuntu lwalidduka mugandawe
80:35وَأُمِّهِۦ وَأَبِيهِ
Ne maamawe, ne kitaawe
80:36وَصَٰحِبَتِهِۦ وَبَنِيهِ
Ne mukyalawe, n’abaanabe
80:37لِكُلِّ ٱمۡرِيٍٕ مِّنۡهُمۡ يَوۡمَئِذٍ شَأۡنٌ يُغۡنِيهِ
Buli muntu ku lunaku olwo ajja kuba ku nsonga emukwatako yekka
80:38وُجُوهٌ يَوۡمَئِذٍ مُّسۡفِرَةٌ
Ebyenyi ebimu ku lunaku olwo bigenda kuba byakaayakana
80:39ضَاحِكَةٌ مُّسۡتَبۡشِرَةٌ
Nga biriko akamwenyumwenyu, nga bisanyufu
80:40وَوُجُوهٌ يَوۡمَئِذٍ عَلَيۡهَا غَبَرَةٌ
Ate ebyenyi ebirala bigenda kuba nga bigubye
80:41تَرۡهَقُهَا قَتَرَةٌ
Nga ekizikiza kibibisse
80:42أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡكَفَرَةُ ٱلۡفَجَرَةُ
Abo nno be baawakanya Katonda, aboonoonyi
Translation: Fareeq Musa.